Amawulire

Abantu 4 Okuli Nabaana be Ssomero Baafiridde mu Nnyanja Alebert

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abantu 4 okuli nabaana be ssomero abekyomusanvu  ku ssomero lya Katalemwa P/S mu ggombolooa ye Bwikara mu district ye Kagadi basikrikidde mu nnyanja Albert eryato lyebabaddemu bwerikubiddwa envubu.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Kagadi Peter Ongwara, akaksizza enjega eno.

Akabenje kano kagudde ku mwalo gwe Kabukanga mu ggombolol aye Ndaiga.

Abagenzi kuliko Kenneth Musinguzi owemyaka 17, Alex Tulinawe owemyaka 14, Tumusiime Burunu 14 nga bonna batuuze be Nyakarongo mu ggombololoa ye Bwikara songa omuntu owokuna ategerekese nga Mumbere Mugulu owemyaka 18, mutuuze we Kasese.

Kati emirambo gyonna jinyuluddwayo okuweebwa abenganda jizikubwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *