Amawulire

Eby’oluguudo lwa Entebbe Express biwanvuye

Ali Mivule

May 12th, 2017

No comments

Bya Sam Sebuliba Ababadde besunga okutandika okukozesa oluguudo lwa Entebbe Express Highway bakugira nga bagumikirizamu omwaka omulala mulamba. Abazimba oluguudo luno bategezezza nti okulwawo okuliyirira bananyini ttaka oluguudo weluyita wamu n’enjazi ezikaluba bibalemesezza okulumaliriza mu budde. Oluguudo luno olwa kilomita 36 lulina kumalirizibwa mu November […]

Eyalagajjalira omulwadde n’afa bamuli bubi

Ali Mivule

May 12th, 2017

No comments

    Bya Malik Fahad Omubaka wa pulezidenti e Lwengo ayingidde mu by’omusawo w’eddwaliro lye Lwengo agambibwa okulagajjalira omulwadde n’afa. Omubaka  Mariam Nalubega Sseguya okubiyingiramu kiddiridde  Emma Katongole okufiira mu ddwaliro lino nga era baakitadde ku bulagajavvu. Omu ku b’oluganda b’omugenzi John Kaweesi ateegezezza nga […]

Enjuki zisse omwana

Ali Mivule

May 12th, 2017

No comments

Bya Yahud Kitunzi Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Silika mu disitulikiti ye Busia enjuzi bwezilumye omwana ow’emyaka 4 n’afiirawo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi  Sowali Kamulya akakasizza kino omugenzi n’amumenya nga Hatiti Deludani nga era enjuki za  Micheal Sanya muliraanwa. Kamulya agamba omulambo […]

Katikiro kati myaka 4 nga akutte ddamula

Ali Mivule

May 12th, 2017

No comments

  Nga 12omwezi ogwokutaano omwaka 2013 katikiro wa Buganda yakwasibwa ddamula nga era olwaleero lwegiweze  emyaka 4 bukyaga akwasibwa obuvunanyizibwa buno. katikiro wabuganda Charles Peter Mayiga olw’ebirungi byakoledde Buganda awamu n’obuvumu bwayoleseza ngatukiriza obuvunanyizibwa obwo tusobodde okwogeerako naye okutumbulira olugendo lwe naddala ebimusomozza. wabula katikiro […]

Enjala ekyatta bannayuganda

Ali Mivule

May 12th, 2017

No comments

  Gavumenti bongedde okuginenya ku njala eyongedde okukaabya bannayuganda obukoko. Abantu abalumbibwa enjala beyongera buli lukya nga abasinga banditondoka. Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akalwanirira eddembe ly’obuntu Jovah Kamateeka agamba luli Uganda yali emanyiddwa nga ensulo y’emmere eri amawanga agaliranyewo wabula tekikyaliwo kubanga gavumenti tekyafaayo. Okusobola […]

NRM yeddizza eky’e Kagoma

Ali Mivule

May 12th, 2017

No comments

  Bya Ismali Laddu Tausi Nakato Munna NRM  Moses Walyomu yeddiza ekifo kye eky’omubaka we Kagoma . Ono yalangiriddwa akulira eby’okulonda e Jinja Rogers Edward Serunjogi oluvanyuma lw’okukukumba obululu  24,257, naddirirwa atalina kibiina  Alex Brandon Kintu n’obululu18,490.. Munna FDC  Timothy Batuwa Lusala yafunye obululu 8,149 […]

Asse omwana wamuliranwa

Ali Mivule

May 11th, 2017

No comments

Bya Magembe ssabbiiti Poliisi   mu  district  ye  Mubende  eli  ku muyigo  gwa  ssemaka  akidde omwana  wamuliranwa  we owemyaka  4  namutemateema  ebiso  namutta nga  olumaze  okukola  ettemu  lino nabulawo. Ettemu  lino  libadde  ku  kyalo Lugalama  mu  gombolola   ye Butoloogo  eMubende Behengana –Sseemu  myaka  35 yavudde […]

Abadde atigomya abe Kabowa gamumyuse

Ali Mivule

May 11th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Poliisi  ye Kabowa ekutte omusajja agambibwa okubeera mu kibinja okibba emmotoka ne pikipiki ne babitunda ebweru w’eggwanga. Omukwatte yye Bahat Silver Odongo myaka 28 era nga mutuuze we Bukasa Muyenga wano mu Kampala era nga pikipiki gyakwatidwa nayo ekika kya TR sport […]

Ssabasajja asiimye

Ali Mivule

May 11th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi  II  asiimye eddiini y’obuyisiraamu okulemberamu okusaba mu lubiri e Mengo nge naku zomwezi 24/5 omwaka guno nga bajjukira nga bwejiweze  emyaka 51 bukya Dr Milton  Obote  alumba olubiri  olwe Mengo . Entekateka eno eyanjuliddwa minister webyobuwangwa nennono […]

Dr Stella Nyanzi awonye ekkomera

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Kyaddaaki Munnabayanjigiriza ateerya ntama Dr. Stellah Nyanzi kkooti ekkirizza yeyimirirwe awoze nga ava bweru. Nyanzi yeyimiriddwa ku bukadde 10 ezitali zabuliwo n’abamweyimiridde obukadde 10 buli omu ezitali zabuliwo. Banamateeka ba Nyanzi bategezezza nti omusango gwe guluddewo okuwulirwa kubanga abadde teyewulira bulungi. Nyanzi […]