Amawulire
Ekyuma kigayizza omukozi
Bya George Muzoora Omuvubuka ow’emyaka 16 ekyuma kya sukaali kimugaayizza yenna n’asigala bulere ku kkolero lya Kinyara Daniel Daniel Odoch nga muyizi ku ssomero lya Kinyara high school mu Budongo mu disitulikiti ye Masindi abadde akolera ku kkolero lya sukaali lino nga anoonya fiizi wabula kuluno […]
Byanyima afudde
Bya Stephen Mbidde Muzeeyi Bonifance Byanyima nga ono ye taata wa Winnie Byanyima muka Dr Kiiza Besigye eyali ssenkulu w’ekibiina kya FDC AFUDDE. Muzeeyi Byanyima afiiridde mu ddwaliro lya Nakasero . Omugenzi yaliko omukulembeze w’essomero lya Mbarara High School era ssentebe w’ekibiina kya DP. Munnabyabufuzi […]
Poliisi byongedde okugyononekera
Bya Damali Mukhaye Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu ab’ekibina kya Human rights network basabye palamenti okukola okunonyereza ku bantu abagambibwa okutulugunyizibwa bukyanga eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi attibwa. Bano okuvaayo bwebati nga abantu 13 abakwatibwa ku byekuusa ku ttemu lino balumiriza poliisi okubatulugunya […]
Ab’eKyaddondo bakulonda mu June
Bya Ritah Kemigisha Akakiiko k’ebyokulonda kamaze okukakasa ebigenda okugobererwa mu kulonda omubaka wa Kyadondo East nga era abeeno baakulonda nga 26 June 2017. Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire olwaleero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama ategezezza nga okusunsula bonna abagenda okwesimbawo bwekwokubeerawo nga 30 ne nga 31 […]
Siriimu akyegirisiza mu bavubuka
Bya Moses Ndaye Nga Uganda yegatte ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omusubbawa olugendereddwamu okujjukira abafudde siriimu gavumenti etegezezza nti yakafiirwa abantu abasukka mu kakadde kalamba bukyanga siriimu abalukawo. Bino byasanguziddwa minisita avunanyiaibwa ku nsonga za pulezidenti Esther Mbayo n’ategeeza nti mukiseera kino abantu nga akakadde […]
Bamulerwa babayimirizza
Bya Gertrude Mutyaba Abakulu mu district ye Kalungu bayimirizza abasawo ba mulerwa ababadde bazaalisa abakyala nga tebalina bukugu bumala. Kino kigendereddwamu okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya ogugambibwa okuba nga gweyongedde. Ssentebe wa district ye Kalungu Richard Kyabaggu abadde abasisinkanyemu n’abagamba nti kino […]
Akunkumudde mu kacupa gamumyuse
Bya Ruth Andera Waliwo omusajja ow’emyaka 23 awereddwa ekibonerezo kya saawa 30 nga akola bulungi bwansi nga omusango ogumuvunibwa gwakwefula kyeneena Steven Ssendegeya nga avuga bodaboda ya gaali kigambibwa nti yakwatibwa wano ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa nga ennaku zomwezi 10th/May 2017 oluvanyuma lwokumusanga […]
Yetuze lwa mabanja
Bya Malik Fahad E Bukomansimbi omusajja ow’emyaka 30 yetugidde mu nyumba ya nyina Frank Wasswa omutuuze ku kyalo Kabigi y’asangiddwa nga alengejjera ku muguwa mu kisenge kya nyina Nalongo Regina. Mukyala Regina agamba kimubuseko okusanga mutabaniwe nga yetuze kubanga mpaawo nsonga yoonna gy’amanyi eyinza kuba […]
Poliisi bongedde okugikomerera emisumaali
Bya Ben Jumbe Omubaka w’essaza lye Kibaale mu disitulikiti ye Kamwenge Cuthbert Abigaba avumiridde engeri meeya we Kamwenge Geoffrey Byamukama gyebapakudde mu ddwaliro lye Nakasero okumuzza mu kkomera lye Nalufenya mu disitulikiti ye Jinja nga akyalina ebiwundu. Okusinzinziira ku mukyalawe Viola Kyomugisha, Byamukama y’ajiddwa mu […]
FDC eyingidde mu bya sukaali
Bya Damali Mukhaye Nga ebbeeyi ya sukaali yeyongera okwekanama buli lukya, ab’ekibiina kya FDC basabye gavumenti ekkirize sukaali ataliiko musolo ayingizibwe mu ggwanga okusobolaokutaasa bannayuganda ababadde bavudde ku ka caayi. Kilo ya sukaali kati egula 7000 awamu nga minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde y’ategezezza nga ekyeya […]