Amawulire

Ab’eKyaddondo bakulonda mu June

Ali Mivule

May 16th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisha

Akakiiko k’ebyokulonda kamaze okukakasa ebigenda okugobererwa mu kulonda omubaka wa Kyadondo East nga era abeeno baakulonda nga 26 June 2017.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire olwaleero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  Simon Byabakama ategezezza nga okusunsula bonna abagenda okwesimbawo bwekwokubeerawo nga 30 ne nga 31 May ku ofiisi z’akulira eby’okulonda e Wakiso.

Oluvanyuma wakubeerawo ennaku 6 abalonzi mwebanasobola kwemulugunya ku besimbyewo olwo kampeyini zitandike okuva nga 2 okutuusa nga 23 June nga ziva ku ssaawa emu obutasukka ssaawa 12 ezakawungezi.

Ssentebe agamba basuubira abalonzi 68,731 okwetaba mu kulonda.

Ekifo ky’omubaka we Kyadondo  East kyasigala kikalu oluvanyuma lwa Apollo Kantinti okufumulwa.