Amawulire

Siriimu akyegirisiza mu bavubuka

Ali Mivule

May 16th, 2017

No comments

Bya Moses Ndaye

Nga Uganda yegatte ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omusubbawa olugendereddwamu okujjukira abafudde siriimu gavumenti etegezezza nti yakafiirwa abantu abasukka mu kakadde kalamba bukyanga siriimu abalukawo.

Bino byasanguziddwa minisita avunanyiaibwa ku nsonga za pulezidenti Esther Mbayo n’ategeeza nti mukiseera kino abantu nga akakadde kamu n’ekitundu bwebawangaala ne siriimu sso nga abavubuka abali mu 500 bebakwatibwa siriimu buli wiiki.

Olunaku luno olw’okukuzibwa olunaku lw’enkya lukuzibwa buli lwa nga 17 May mu nsi yonna okujjukira bonna abazze bafa siriimu.

Minisita  agamba emikolo emikulu gyakubeera e Kiryandongo .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *