Amawulire

Yetuze lwa mabanja

Ali Mivule

May 15th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad

E Bukomansimbi omusajja ow’emyaka 30 yetugidde mu nyumba ya nyina

Frank Wasswa  omutuuze ku kyalo  Kabigi  y’asangiddwa nga alengejjera ku muguwa mu kisenge kya nyina Nalongo Regina.

Mukyala Regina agamba kimubuseko okusanga mutabaniwe nga yetuze kubanga mpaawo nsonga yoonna gy’amanyi eyinza kuba nga emuviiriddeko okwetuga.

Lameck Kigozi nga y’ayogerera poliisi mu massengeta ga Uganda akakasizza kino n’ategeeza nga omulambo bwegusaliddwayo ku muguwa nga era bakyanonyereza.

Kigozi agamba bakyanonyereza ku bigambibwa nti omugenzi abadde n’amabanja manji agayinza okuba nga gamuviiriddeko okwetuga.