Amawulire
Byanyima afudde
Bya Stephen Mbidde
Muzeeyi Bonifance Byanyima nga ono ye taata wa Winnie Byanyima muka Dr Kiiza Besigye eyali ssenkulu w’ekibiina kya FDC AFUDDE.
Muzeeyi Byanyima afiiridde mu ddwaliro lya Nakasero .
Omugenzi yaliko omukulembeze w’essomero lya Mbarara High School era ssentebe w’ekibiina kya DP.
Munnabyabufuzi Yona Kanyomozi nga ono omugenzi amumanyi bulungi agamba muzeyi Byanyima yakolerera nyo enkulakulana mu bitundu bya Ankole.