Amawulire

Bamulerwa babayimirizza

Ali Mivule

May 16th, 2017

No comments

 

Bya Gertrude Mutyaba

Abakulu mu district ye Kalungu bayimirizza abasawo ba mulerwa ababadde bazaalisa abakyala nga tebalina bukugu bumala.

Kino kigendereddwamu okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya ogugambibwa okuba nga gweyongedde.

Ssentebe wa district ye Kalungu Richard Kyabaggu abadde abasisinkanyemu n’abagamba nti kino kyakuyambako gavumenti okumanya abantu bebalina okuteekera teekera naddala ku baana ababa bazaaliddwa.

Ono agamba nti abasawo bano babeera tebalina busobozi kuyambako bakyala balina kawuka ka siriimu kubatangira kukasiiga baana baba bazaaliddwa era n’asaba bamulerwa basindike nga abalwadde mu ddwaliro ababa bagenze gyebali.

Ruth Komugisha nga y’avunaanyizibwa ku by’obulamu ku lukiiko lwa district asabye abakulembeze okunnyikiza enteekateeka eno mu bitundu byabwe naagamba nti kino kyakuyambako ba mulerwa obutasiigibwa ndwadde.