Amawulire

Lukwago azizza omuliro

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Loodi meeya wa kampala  Erias Lukwago aweze okusimbira ekkuuli ebbago ly’etteeka erireetebwa okunafuya ekifo kya loodi meeya. Ebbago lino lyayanjuddwa eri palamenti nga era ssinga liyisibwa olwo minisita wa Kampala y’aba akulira oludda lwabannabyabufuzi ekisala ku buyinza bw’omuloodi. Wabula Lukwago ategezezza nti […]

Bannayuganda balabuddwa ku kyeyo

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Bananyuganda abayaayaana okulolera ebweru w’eggwanga balabuddwa okwewala okugenda mu mawanga agatateeka Mukono ku ndagaano na gavumenti yakuno ku nsonga z’abakozi. Uganda yategeragana n’amawanga okuli Saudi Arabia ne  Qatar, okulaba nga abakozi tebatuusibwako buzibu bwonna nga bagenze okukolerayo. Moses Binoga nga yemukwanaganya w’akakiiko […]

Abadde akozesa abatanetuuka gamumyuse

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

  Bya Shamim Nateebwa Poliisi ekutte omukazi abadde  akozesa abaana abatanetuuka Madrine Kwagala nga ye nnanyini bbaala ya  Best Pub esangibwa e Wakaliga yakwatiddwa poliisi ya Kampala Mukadde n’omusajja agambibwa okusobya ku bawala abamukolera. Okukwatibwa kw’abantu bano kiddiridde omu ku bawala okwemulugunya ku mbeera y’okukakibwa […]

Eddagala erifuyira obusanyi lituuse

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

Bya Gertrude Mutyaba Minister avunaanyizibwa ku by’obuvubi,obulimi n’obulunzi akakasizza banna Uganda nga bwebamaze okufuna eddagala erigenda okuyambako okusanyaawo akasaanyi. Minister Vincent Bamulangaki Ssempijja ategeezezza nti kati abalimi balina essuubi okukungula ensigo olwokuba nti gavumenti yabakanye dda n’eddimu lyokugula eddagala. Okugaba eddagala ly’akawuka Minister ategeezezza nti […]

Abaamenya essomero lye Kasubi bakyabuze

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza bakunyizza abakungu okuva mu KCCA olw’okulemererwa okunonyereza  okumanya eyali emabega w’okumenya essomero lya Kasubi Family Primary School. Nga 24th May 2016 essomero lino lyamenyebwa mungeri etaategerekeka bulungi olwo abayizi abasoba mu 600 nebasigala nga tebalina […]

Poliisi ekyalemedde abaana b’abakwate

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

Bya Ben jumbe Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu batadde poliisi ku ninga eyimbule mangu abaana b’omu ku baakwatibwa  ku kutibwa Andrew Felix Kaweesi. Kino kiddiridde poliisi okugaana okubayimbula olunaku lweggulo okuva ku poliisi ye naggalama  olwo bamaama baabwe abaabadde bagenze okubagyayo nebasigala nga bakonkomaliridde.   Kati munnamateeka […]

Eyalimba ku bya Kaweesi bamusibye

Ali Mivule

May 9th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Kkooti ya City Hall  eriko omukazi ow’emyaka 18 gw’ebasibye omwaka ggumu n’ekitundu lwakuwa poliisi bujulizi bukyamu ku kutibwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi. Shiellah Nalubega nga mutuuze we  Bukomasimbi mu disitulikiti ye Masaka akkirizza omusango guno mu maaso […]

Obuyinza bwa loodi meeya bwakukendezebwa

Ali Mivule

May 9th, 2017

No comments

Bya Mose Kyeyune Gavumenti olwaleero esuubirwa okwanja enongosereza mu mateeka agafuga ekibuga Kampala aga 2010. Kino kiddiridde emiwaatwa egyenjawulo egizze ginokolwayo mu tteeka lino nga era bangi bagamba kyekivuddeko okusika omugwa mu KCCA. Okusinziira ku bigenda okuteesebwako ebirabiddwako, Minisita wa Kampala Betty Kamya asuubirwa okuleeta […]

Abbye anatooke alula

Ali Mivule

May 9th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad Poliisi ye  Kyamulibwa mu disitulikiti ye Kalungu etaasizza omusajja ow’emyaka 35 okutibwa abatuuze lwakumusanga lubona nga abba amatooke mu lusuku lwamunaabwe. Joseph Walusimbi 35 nga mutuuze ku kyalo  Ssebijja  y’awonye amagombe abatuuze bwebamusanze lubona nga ayunja byatasimba mu lusuku lwa Hajat Joweriya […]

Amasasi gazzemu okunyooka e Kyengera

Ali Mivule

May 9th, 2017

No comments

Bya Damali mukhaye Abasaabaze abakwata olwemasaka nga bava e Kampala embeera yeyongedde okubakalubirira oluvanyuma lw’abagoba ba taxi e Kyengera okuziba ekkubo eridda e Masaka lwankaayana za siteegi. Amasasi nate gazzemu okunyooka nga bwegwabadde olunaku lw’eggulo nga abataxi e Kyengera baakaayana naba siteegi ye Kibuye nga […]