Amawulire

Obuyinza bwa loodi meeya bwakukendezebwa

Ali Mivule

May 9th, 2017

No comments

Bya Mose Kyeyune

Gavumenti olwaleero esuubirwa okwanja enongosereza mu mateeka agafuga ekibuga Kampala aga 2010.

Kino kiddiridde emiwaatwa egyenjawulo egizze ginokolwayo mu tteeka lino nga era bangi bagamba kyekivuddeko okusika omugwa mu KCCA.

Okusinziira ku bigenda okuteesebwako ebirabiddwako, Minisita wa Kampala Betty Kamya asuubirwa okuleeta ebbago ly’etteeka lino.

Omusasi waffe Moses Kyeyune atutegezezza nti byasobodde okutegeerako nti ebbago lino lirubiriddwamu kuwa minisita wa Kampala obuyinza nga omukulembeze wabannabyabufuzi ku KCCA sso ssi Loodi meeya.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *