Amawulire

Abbye anatooke alula

Ali Mivule

May 9th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad

Poliisi ye  Kyamulibwa mu disitulikiti ye Kalungu etaasizza omusajja ow’emyaka 35 okutibwa abatuuze lwakumusanga lubona nga abba amatooke mu lusuku lwamunaabwe.

Joseph Walusimbi 35 nga mutuuze ku kyalo  Ssebijja  y’awonye amagombe abatuuze bwebamusanze lubona nga ayunja byatasimba mu lusuku lwa Hajat Joweriya Namatovu.

Ssentebe w’ekyalo kino  Hussein Ssensamba  agamba ababbi b’emmere beyongedde mu kitundu kyabwe nga kati abatuuze tebakyebaka basula bakuuma birime byabwe.

Omwogezi wa poliisi mu masserengeta ga Uganda Lameck Kigozi akakasizza okukwatibwa kwa Walusimbi n’ategeeza nti abalala ababiri baabadde nabo badduse.