Amawulire

Eddagala erifuyira obusanyi lituuse

Ali Mivule

May 10th, 2017

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Minister avunaanyizibwa ku by’obuvubi,obulimi n’obulunzi akakasizza banna Uganda nga bwebamaze okufuna eddagala erigenda okuyambako okusanyaawo akasaanyi.

Minister Vincent Bamulangaki Ssempijja ategeezezza nti kati abalimi balina essuubi okukungula ensigo olwokuba nti gavumenti yabakanye dda n’eddimu lyokugula eddagala.

Okugaba eddagala ly’akawuka Minister ategeezezza nti kwakutandika sabbiiti ejja mu district ez’enjawulo.

Minister waaviiriddeyo okwogera bino nga abalimi abasinga mu district ye Kalungu balaajana olw’akawuka kebagamba nti tekafa.

 

Abakulembeze bategeezezza nti gavumenti yali ebawaddeyo ku ddagala kyokka nga lyali ttono ddala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *