Amawulire

Amasasi gazzemu okunyooka e Kyengera

Ali Mivule

May 9th, 2017

No comments

Bya Damali mukhaye

Abasaabaze abakwata olwemasaka nga bava e Kampala embeera yeyongedde okubakalubirira oluvanyuma lw’abagoba ba taxi e Kyengera okuziba ekkubo eridda e Masaka lwankaayana za siteegi.

Amasasi nate gazzemu okunyooka nga bwegwabadde olunaku lw’eggulo nga abataxi e Kyengera baakaayana naba siteegi ye Kibuye nga buli ludda lurumiriza lunaalwo okusalimbira webatalina kugenda.

Mukiseera kino abataxi bano tebakkiriza taxi yonna kuyita Kyengera okweyongerayo wabula nga zzo eziva e Masaka okuyingira Kampala zikiirizibwa okuyitawo.

Twogendeko ne chairperson wa njegera taxi park Mulasi Simon peter natutegeeza nti bino tebinaggwa nga era tebagenda kuddamo kusabasa abantu okutuusa nga basisisnkanyemu ssabapoliisi Gen  kale Kayihura .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *