Amawulire

Eby’oluguudo lwa Entebbe Express biwanvuye

Ali Mivule

May 12th, 2017

No comments

Bya Sam Sebuliba

Ababadde besunga okutandika okukozesa oluguudo lwa Entebbe Express Highway bakugira nga bagumikirizamu omwaka omulala mulamba.

Abazimba oluguudo luno bategezezza nti okulwawo okuliyirira bananyini ttaka oluguudo weluyita wamu n’enjazi ezikaluba bibalemesezza okulumaliriza mu budde.

Oluguudo luno olwa kilomita 36 lulina kumalirizibwa mu November wa 2017 ku bukadde bwa doola  476 wabula akulira okuzimba oluguudo luno Li Jincheng agamba ebizibu bikyali bingi.

Anyonyodde nti waliwo olwazi lw’eNalumunye nga eno betaaga wiiki namba okulusessebula sso nga n’okuliyirira abatuuze be Kitala tekunatandika okulugaziya.

Wabula awadde essuubi nti November w’anatuukira ekitundu wakati wa Busega ne Kitala kijjakuba kiwedde era n’ategeeza nti okusinga gavumenti yaakuno yevuddeko okulwa nga tenaliyirira bantu.