Amawulire
Abadde atigomya abe Kabowa gamumyuse
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ye Kabowa ekutte omusajja agambibwa okubeera mu kibinja okibba emmotoka ne pikipiki ne babitunda ebweru w’eggwanga.
Omukwatte yye Bahat Silver Odongo myaka 28 era nga mutuuze we Bukasa Muyenga wano mu Kampala era nga pikipiki gyakwatidwa nayo ekika kya TR sport
Okukwatibwa kiddiridde okubaako kayungirizi w’emmotoka gweyatuukiridde ng’amusaba amunoonyeze akatale ka pikipiki eno n’emmotoka ekika kya Premio .
Odongo bwatuusiddwa ku poliisi e Kabowa ategeezezza nti pikipiki yagibba ku musajja ayitibwa Umar omutuuze w’e Kabalagala mu gwokusatu omwaka guno n’agitwala e Busia ne bagikyusa langi.
Akulira poliisi ye Kabowa Vincent Bright agambye nti Odongo bagenda kumukwasa ekitongole Kya Flying squad kyongere okumunoonyerezaako wabula nga mu kiseera kino ali ku Poliisi y’e Kabowa gy’agguddwako emisango egy’enjawulo ku SD;Ref;33/04/05/2017