Amawulire

Ssabasajja asiimye

Ali Mivule

May 11th, 2017

No comments

Abaserikale ba Obote lwebalumba olubiri mu 1966

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi  II  asiimye eddiini y’obuyisiraamu okulemberamu okusaba mu lubiri e Mengo nge naku zomwezi 24/5 omwaka guno nga bajjukira nga bwejiweze  emyaka 51 bukya Dr Milton  Obote  alumba olubiri  olwe Mengo .

Entekateka eno eyanjuliddwa minister webyobuwangwa nennono mu bwakabaka bwa Buganda Owek.Denis walusimbi mu yaffesi ya supreme mufti e kibuli .

Ow’ekitibwa   Ssengendo  agambye nga olunaku luno bweluli olw’omuwendo kuba lujjukiza ebyaliiwo nga era  sikukungubaga kwoka kubanga mwalimu ne sekabaka Muteesa 2 okusimattuka okuttibwa ekintu kyebalina okujaguza nga obuganda

Ate ye Supreme mufti wa Uganda sheikh  Siliman kasule  Ndilangwa yebaziiza beene olw’okusiima n’abawa omukisa  era nti okusaba kuno kugenda kunyweza obwakabaka nga kwossa n’okuyamba obuganda mu kugenda mu maaso n’entekateka zabwo .

Ono akakasiza nga omukolo bwegugenda okubeera ogwekitibwa kubanga wakukowola abasiraamu bonna wamu nabantu abalala mu ggwanga wamu nemubwakaabaka okwetaba mukusaba kuno .

Kati guno mulundi gwamukaaga bukyanga beene asiima okujukira olunaku luno era nga buli mwaka waberawo eddini j’aba  asiimye okulaba nga balujjukira buli mwaka.