Amawulire

Abalina ebizimbe biganyegenya bakiguddeko

Ali Mivule

May 4th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Abamu ku Bananyini mayumba agali mumbeera embi mu Kampala bayitiddwa kkooti ya City Hall  babeeko nebyebajinyonyola.

Bano nga bawerera ddala bataano bayitiddwa omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende, era ng’abalala bawereddwa ebibaluwa bi bakutunmye.

Bano bakuvunanibbwa emisango egy’okubeera n’ebizimbe ebiri mu mbeera embi mu Kampala wamu n’okujemera ebiragiro bya KCCA  okutereza ebizimbe byabwe .

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Kumbuga lugamba nti ebizimbe bino ebiri mu mbeera embi biri mu  Kisenyi .

Bano basubirwa okulabikako mu kkooti nga May 24th 2017 babeeko byebadamu ku misango gino

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *