Amawulire

Eyafudde nga azaala akwasizza abasawo

Ali Mivule

May 4th, 2017

No comments

Bya Alex Tumuhimbise

Abasawo 2 okuva ku ddwaliro lya  Kasambya Health center III mu disitulikiti ye  Kakumiro bakwatiddwa lwabigambibw anti baalagajalidde omukyala n’azalira ku kkubo n’afa.

Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikulembeddwamu aduumira poliisi ye Kakumiro Hassan Mugerwa nga era bano kuliko akulira eddwaliro lino wamu n’omukyala omuzaalisa.

Mukyala Everlyne Kyohirwe nga wa nzaalo 4 yafiiridde ku mabbali g’oluguudo nga azaala oluvanyuma lw’okumala olunaku lulamba  ku ddwaliro lye Kasambya nga abasawo bonna tewali aliwo.

Omuzaalisa ono ategezezza poliisi nti y’abadde agenze Hima kujja baanabe ku ssomero abaabadde bawumudde nga era y’asabye mukamawe.

Bba w’omugenzi  Emmanuel Kahyoora atutegezezza nti ku mande y’atwala mukyalawe eyali omuzito mu ddwaliro okuzaala wabula y’asanga abasawo ku ddwaliro tekuli yadde n’omu n’asangawo asikaali yekka naye bambi nebimusobera.