Amawulire

Kiki Ekyongera Ba Nampawengwa mu Palamenti ?

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2017

No comments

PALAMENTI Bya Sam Ssebuliba Okweyongera kwababaka ba nampa wengwa mu palamenti kitereddwa, ku gavumenti engeri gyezze egotanyamu nokunyigiriza abajivuganya gavumenti. Mu kaseera kano ababaka 65 bebakiika mu palalmenti kubwa namunigina nga basing nabavuganya gavumenti abajira mu bibiina abali 51 bokka. Kati okusinziira ku Godbar Tumushabe […]

Nambooze Ayagala Olulimi Lwaba-Kiggala lufuuke Lwa’buwaze

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

MUKONO Bya Ivan Ssenabulya Omubaka wa munispaali eye Mukono Betty Nambooze asabye gavumenti okufuula ekyo’buwaze abaana okusoma olulumi olwo’bubonero oba ‘’Sign Language’’ naddala mu bibiina ebisooka. Nambooze abadde ku mukolo ogwatagekeddwa okumanyisa abantu ku bakiggala ogubadde mu bimuli bya Mayor e Mukono. Abekibiina ekigatta abazadde […]

Aba Rotary Batonzeewo Ensawo Kulwo’kufa kwa Sam Owori

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa Abekibiina kya Rotary mu nsi yonna, bakusaawo ensawo okusonda ensimbi okujjukira pulezidenti wabwe mu nsi yonna Munna-Uganda abadde yakalondebwa, Sam Owori nga ono yafudde oluvanyuma lwokulongosebwa okuggulu mu America  olunaku olwokuna. Kino kikakasiddwa Pulezidenti wa Rotary Internatiola aliko gwabadde agenda okuddira  mu […]

Poliisi Yeganye Ebyo’kwogera ku Kkomo ku Myaka Gyo’mukulembeze

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

KAMPALA Bya Ritah Kemigisa Police ya Uganda esambazze ebyafulumidde mu lupapula lwamwulire, ebyalaze nga Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura bweyaweze okukubaganya ebirowoozo nobuttaddamu kwogera ku kyokujja ekommo ku myaka gyo’mukulembeze we gwanga naddala mu matendekero aga waggulu. Mu kiwandiiko ekifulumizidwa ssekamwa wa poliisi mu gwanga, […]

Obwa Nalulungi ssi Buseegu

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

KYAGGWE Bya Ivan Ssenabulya Abaana abobuwala bakubiriizddwa obutekumiranga mabega, wabula bafeeyo okuzuula ebitone byabwe ebinabatuusa waggulu. Buno bwebubadde obubaka bwa Fredrick Musoke Mulamba, omwami wa Ssabasajja owe gombolola ya ya Mituba 9 e Goma mu Kyaggwe, wakati mu kwetegekera empaka zaba-Nalulungi, mu ssaza lino ezolunnaku […]

Musajja Mukulu Asobezza ku Muwala we Owe’myaka 13

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

LUUKA Bya Abubaker Kirunda Musajja mukulu owemyaka 40 akwatiddwa nebamuggalira ku poliisi ye Luuka nga kigambibwa yakidde kawaala ke akemyaka 13 nakasobyako. Omukate mutuuze ku kyalo Nawansega mu ggombolola ye Bukoma mu district ye Luuka. Atwala poliisi yomu kitundu, Sarah Ambeta ategezezza nti Kaggwa ensonyi ono […]

Eya’bbye Enkoko Asimattuse Okutibwa

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

NANSANA Bya Shamim Nateebwa Omuvubuka  aludde nga’noonyezebwa poliisi ku musango gw’okubba obukadde 25 bamukwatidde Nansana mu bubbi bwenkoko. Ronald Katurebe owemyaka 21 owe Nansana nga’kola gwa kutunda bikajjo e Mulago akwatiddwa poliisi y’e Nansana oluvannyuma lw’okumenya ekiyumba kya George Mayanja omutuuze w’e Nansana West zooni […]

Aba Boda Boda 2010 Banonyerezebweko

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe Gavumenti esabiddwa okukola okunonyereza okwa namaddala ku biyitingana nti abekibiina kya Boda Boda 2010 tebatyobodde ddembe lya banaabwe basula ntebe omuli nebikolwa ebyokutulugunya. Omulanga guno, gukubiddwa abalwanirizi be ddembe lyobuntu aba Foundation for Human rights Initiative. Bino webijidde nga omubaka we Bunya […]

Kooti Zitandise Oluwummula

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

KAMPALA Bya Ruth Anderah Okuwumiriza emisango kuyimiriziddwamu, okutandika no’lunnaku olwaleero nga’bakozi ba kooti batandise oluwummula lwabwe. Okusinziira ku mwogezi we ssiga eddamuzi, Solomon Muyita abagenda okuwmmula kuliko abazzi kooti ento oba Magistrates ne kooti enkulu. Bano bagenda kuwumulamu okumala omwezi mulamba, okuva olwaleero ngennaku zomwezi […]

Aba FDC e Masaka Bakoze Akabaga Okusibula Presidenti Museveni

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

MASAKA Bya Gertrude Mutyaba Aba FDC e Masaka, bawakanyizza ebyokujjawo ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, ebiwulirwa mu nnongosereza eza ssemateeka. Bano basinzidde ku kabaga, kebagambye nti kabadde kasibula mukulembeze we gwanga, gwebagamba nti emyaka girabika giwuubye akatambaala. Aba FDC nga bakulembeddemu omuwandiisi wa FDC […]