Amawulire

Aba Rotary Batonzeewo Ensawo Kulwo’kufa kwa Sam Owori

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abekibiina kya Rotary mu nsi yonna, bakusaawo ensawo okusonda ensimbi okujjukira pulezidenti wabwe mu nsi yonna Munna-Uganda abadde yakalondebwa, Sam Owori nga ono yafudde oluvanyuma lwokulongosebwa okuggulu mu America  olunaku olwokuna.

Kino kikakasiddwa Pulezidenti wa Rotary Internatiola aliko gwabadde agenda okuddira  mu bigere, Ian Riseley.

Omugenzi Owori mu mwaka gwa 2016 mu mwezi gwomunana yalondebwa okubeera omukulembeze Rotary omugya mu nsi yonna owomwaka  gwa 2018/2019 nga’badde asubirwa okutuzibwa mu ntebbe mu July womwaka ogujja mu gwanga lya Canada.

Nga tanalondebwa ku kifo kino yaliko omukulembezze we tendekero lya Corporate Governance of Uganda atera yaliko omukulembeze owoku ntiko owa African Development Bank, yaliko omukulembeze  wa Uganda Commercial Bank Ltd ateera director wa Uganda Development Bank.

Omugenzi yabadde yagenda okubeera Pulezidenti wa Rotary mu Nsi Yonna, omuddugavi owokubiri, okuva wano mu Uganda mu Buvanjubwa bwa Africa.

Sam Owori yafiridde ku myaka egyo’bukulu 76.