Amawulire

Poliisi Yeganye Ebyo’kwogera ku Kkomo ku Myaka Gyo’mukulembeze

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

KAMPALA

Bya Ritah Kemigisa

Police ya Uganda esambazze ebyafulumidde mu lupapula lwamwulire, ebyalaze nga Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura bweyaweze okukubaganya ebirowoozo nobuttaddamu kwogera ku kyokujja ekommo ku myaka gyo’mukulembeze we gwanga naddala mu matendekero aga waggulu.

Mu kiwandiiko ekifulumizidwa ssekamwa wa poliisi mu gwanga, Asan Kasingye bino babiwakanyizza nti tebyogeddwako.

Kasingye ategezezza nti ebyawandikidwa byonna bwabadde bulimba kuba ssabapoliisi we gwanga teyabyogeddeko nti era mukulembeze agondera amateeka nga tayinza kwogera bigambo nga bino.

Kasingye atetegezezza nti ng’ekitongole kya poliisi bamanyi bulungi ng’amatandekero agenjawulo kawefube waago omukulu wakuyigiriza ng’ebintu nga bino byebimu kwebyo ebirina okusibwako essira.

Era ayongedde nategezza nga bwebakubiriza amatendekero agenjawulo okugenda mu maaso okowgera ku buli kyebagadde kasita batamenya amteeka.