Amawulire

Aba FDC e Masaka Bakoze Akabaga Okusibula Presidenti Museveni

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

MASAKA

Bya Gertrude Mutyaba

Aba FDC e Masaka, bawakanyizza ebyokujjawo ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, ebiwulirwa mu nnongosereza eza ssemateeka.

Bano basinzidde ku kabaga, kebagambye nti kabadde kasibula mukulembeze we gwanga, gwebagamba nti emyaka girabika giwuubye akatambaala.

Aba FDC nga bakulembeddemu omuwandiisi wa FDC mu Greater Masaka, Joseph Ssenzogga bakunganidde ku Lanove Hotel mu Soweto e Masaka, nga wabaddewo okyusaba okukulemeddemu obubaka okuva mu bannabyabufuzi.

Wabula mu byewunyisa bano basaze mbeerenge obutafananako nobuga obulala obubaako okusala keeki.

Mu byogeddwa ababaka ba palamenti basabiddwa obutakyukira bantu baabwe bebairira ku nsonga eno

Wabula bino webjidde ngomukubiriza wa palamenti Rebbecca Kadaga yakajja alabule abakulembeze ku kyeyasise okuwabya abantu, nokutebereza ekitanabaawo ku nsonga eno.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *