Amawulire

Kabafunzaki Azeemu Okwegaana

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2017

No comments

KAMAPALA Bya Ruth Anderah Eyali minister omubeezi owabakozi Hebert Kabafunzaki olwaleero alabiseeko mu kooti ewuliriza emisango, gyobukenuzi nate nayegaana, emisango egyamuggulwako egyokufuna ekyojamumiro ekyobukadde Shs5m okuva ku musiga nsimbi. Kabafunzaki, nomuyambi we Brian Mugabo ne Bruce Lubowa balabiseeko mu maaso gomuamuzi Margaret Tibulya okumanya omusango gwabwe […]

Abazirwanako Babagumizza nti Bakusasulwa

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2017

No comments

Luweero Bya Sam Ssebuliba Government etegezeza nti embalirizza entekateeka, ngegenda kuliyirira abazirwanko bonna mu bitundu bye Luweero mu mwaka gwebyensimbi 2018/19. Gavumenti yalaze obweyamu bwayo ku nsonga eno, ngobuwumbi 30 bwebwatekedde mu mbalirira eri ministry yakanyigo ke Luweero. Minister omubeezi owakanyigo ke Luweero Denis Galabuzi […]

Bamusse Lwakutwala Bibanja Byabwe

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2017

No comments

MUBENDE Bya Magembe Sabiiti Poliisi ekakanya obujagalalo eyiriddwa mu gombolola ye Madudu mu disitulikiti ye Mubende okukakanya embeera, oluvanyuma lwabatuuze ku byalo 5 abatwalibwako ebibanja byabwe ne bisimbibwako emiti okuva mu mbeera nebakakana ku manager wa kampuni  yaba China esimba emiti mu kitundu, eya Quality-Parts nga ye […]

Babiri Babakutte Bookya T-Shairt za Museveni

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2017

No comments

KAMPALA Bya Damalie Mukhaye Police mu masekati ga Kampala eriko abavubuka 2 begalidde, bwebasangiddwa nga bookya emipiira ne T-Shirt za president Museveni nga bekalakaasa okuwakanya, ennongosereza eziwulirwa mu ssemateeka okujjayo ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Abakwate bebamu ku bavubuka abekiwayi kya Jobless brotherhood, nga […]

Aba Bakutongoza Kawefube labula-“KOJIKWATAKO”

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2017

No comments

KAMPALA Bya Rita Kemigisa Abekibiina kya Democratic Party nabo balangiridde nti bakutongoza kawefube mungeri yokulabula, gwebatuumye Kogitwatako ku Lwokuna lwa wiiki eno nga bawakanya ebiwulirwa okutigatiga ssemateeka we gwanga akawayiro ake 102(b) okujjawo ekkomo ku myaka gyokulembeze we gwanga. Mu lukungaana lwabanamawulire olutudde ku kitebbekyekibiina […]

omwana akubiddwa n’azirika lwakubba nva

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Poliisi ye Kamuli eriko omukazi ow’emyaka 27 gwekutte lwakukuba muwalawe ow’emyaka 3 n’azirika lwakubba nva za binyeebwa. Lukia Kawuma omutuuze mu zooni ye Bulondo zone mu disitulikiti ye Kamuli y’akwatiddwa olwokubonereza obubi omwana nti y’akutte mu nva. Omwogezi wa poliisi mu Bisoga […]

Omukazi omulala atiddwa e Nansana

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi mu Kampala ekyanonyereza ku ttemu erikutte wansi ne waggulu mu municipaali ye Nansana nga waliwo omukazi omulala atiddwa mu bukambwe olwaleero. Ono okutibwa nga poliisi ekyanonyereza ku balala 4 abatibwa mu kitundu kino ku ntandikwa y’omwaka guno. Omwogezi wa poliisi mu […]

Omusaabaze bamugyemu amannyo lwabutasasula 3000

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Kondakita akubye omusaabaze  n’amuwangulamu amanyo lwa 3000. Kondakita wa takisi nnamba UAT 156B nga ye  Ibra Matovu okutabuka kiddiridde okutwala omusaabaze okuva e Luweero okutuuka e Kawanda kyokka bwe yamusabye ssente ze 3,000/- ze yatambulidde n’adda mu kwebuzaabuza.. Olwafulumye mu takisi n’ateekako […]

Eyatomeddwa emmotoka ya KCCA alaajanye

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Omusubuuzi atomedwa emotooka ya KCCA alaajanye bamuddukirire. Sarah Namayanja  owemyaka 40 nga mutuuze eKawempe – Lugoba atunda ebyokunywa mu ppaaka ankadde y’alajanye n’ategeeza nti kyamutuseeko atwalibwa mu kkooti aba KCCA. Namayanja  mukiseera kino ali mu ddwaliro e Mulago agamba nti bwe baabadde […]

Abadde afera owa Mobile Money alula

Ali Mivule

July 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Solomon Muwanguzi bamukutte ng’afera Nadiah Nabateregga akola ku Mobile Money ne bamukuba ne bamutulisa emimwa n’ennyindo era poliisi y’e Kawempe Ttula egenze okumutaasa ku bantu ng’afuuwa musaayi tasulewo tasibe yalikumimwa gyabantu. Kitegerekesse nti  omuvubuuka ono agambye Nabateregga nga bw’ayagala okumusindikira 10,000/ ku […]