Amawulire

Bamusse Lwakutwala Bibanja Byabwe

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2017

No comments

MUBENDE

Bya Magembe Sabiiti

Poliisi ekakanya obujagalalo eyiriddwa mu gombolola ye Madudu mu disitulikiti ye Mubende okukakanya embeera, oluvanyuma lwabatuuze ku byalo 5 abatwalibwako ebibanja
byabwe ne bisimbibwako emiti okuva mu mbeera nebakakana ku manager wa kampuni  yaba China esimba emiti mu kitundu, eya Quality-Parts nga ye Tumwine  Stephen nebamutematema ne bamutta.

Poliisi ngekulembedwamu omuddumizi waayo, Byaluhanga Patrick nomubaka wa gavumenti Florence Beyunga batuuse ku kyalo Nakasozi webatidde manager ono mu bukuumu obutagambika wakati mu kunonyereza.

Kati twogeddeko ne Kansala akikirira omuluka gwe Kabulamuliro ku gombolola ye Madudu, Katulamu Moses ngategezeezza  nga obutakanya ku ttaka lino bwebwatandika
mu mwaka gwa 2011 nga nokutuusa kati ensonga gavumenti ebadde tefudeeyo okuzigonjoola.