Amawulire

Aba FDC Bajeemye Okutambulira mu Bus ya Poliis

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2017

No comments

LUGAZI-Mabira Bya Sam Ssebuliba Banna FDC abali eyo mu 59 bajeemye okutambulira mu Bus ya poliisi nebasalwo okutambuza ebigereokuva mu Mabira, kulwe Jinja nga bolekera Kampala. Bano bakwatidde okuva mu bitundu bye Gayaza, olunaku olwe ggulo nebabatwala e Nalufenya, wabula babadde bawereddwa okweyimirirwa nga babakomyawo […]

Musisi Bakanyizza ne Hamis Kigundu

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2017

No comments

KAMPALA Bya Damalie Mukhaye Akulira emirimu gyekikugu mu Kampala, Jenipher Musisi atuuse ku kukukaanya nomugagga Hamis Kiguddu alina okukulakulanya ekibangirizi kya Park Yard, okuliyirira abasubuzi mu kaseera kano abakolera ku kizimbe kye. Bwabadde ayogerera mu lukiiko, olutudde ku Cityu Hall mu Kampala mukyala Musisi ategezezza […]

Bannakyewa Basabye Presidenti Museveni Yesamule ebye Kkomo ku Myaka

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2017

No comments

KAMPALA Bya Sam Ssebuliba Ebibiina byobwanakyewa bisabye omukulembeze we gwanga, Yoweri K. Museveni nti ye ssaawa aveeyo yesamule ebiwulirrwa okutigatifga mu ssemateeka we gwanga, okujja ekkomo ku myaka egyomukulembeze we gwanga. Wiiki ewedde waliwo aakunzi bekibiina kya NRM abalaga obumalirivu okukunga banna-Uganda okuwagira ensonga eno. […]

Ba Crime Preventer Bagamba Bebalekera zzi Poliis

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2017

No comments

MUKONO Bya Ivan Ssenabulya Abayambako poliisi okutangira obumenyi bwamateeka ku byalo mu district ye Mukono n’abakulembeze balaze okwemulugunya ku ngeri abasirikale gyebabakolamu emilimu gyabwe. Mu lukiiko olutudde ne DPC we Mukono, Rogers Sseguya gya ku poliisi ye Kyetume bategezezza nti abasirikale mu poliisi z’omubyalo tebakyabeera ku […]

Omusirkale Yakubye Omwana wa Ssentebbe Amasasi Namutta

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2017

No comments

Bya Malikh Fahad Police ye Lugusulu mu district ye Sembabule etandise okunonyereza ku ngeri omusirikale wa poliis gyakubyemu omwana wa ssentebbe we ggombolola ye Lugusulu. Omugenzi ye Paul Tumukunde owemyaka 31, ngabadde mutuuze we Kigando nga mutabani we Fred Kalakule ssentebbe we ggombolola. Omusirkale Canani […]

Poliisi e Masaka Ekubaganye Empawa

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2017

No comments

MASAKA Bya Gertrude Mutyaba Poliisi e Masaka nekubagana empawa n’omubaka atwala ekitundu kino ku kifo ekyategekeddwa okukuba olukungaana olw’okwebuuza ku bantu ku nongoosereza mu teeka ly’ettaka n’okukyusa ssemateeka ku kawaayiro 102 akokuggya ekkomo ku myaka. Ababaka ba Palamenti aboludda oluvuganya gavumenti n’ebibiina eby’obwanakyewa, basuubira okubeera […]

Ssente Zimpeddeko Okujja mu Kooti-Stellah Nyanzi

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2017

No comments

KOOTI Bya Ruth Anderah Omusomesa we Makerere, aterya ntama Dr. Stellah Nyanzi asabye kooti ya Buganda Road okulagira ssabawaabi wa gavumenti, era bakwatagane okutekawo olunnakun olwokuwulirirasko omusango gwe ogwa ogwokukozesa obubi computer navuma omukulembeze we gwanga. Agambye nti okukandalirira kwomusango guno, kumukosezza mu byensawo. Nyanzi […]

Ababbi b’embuzi bagudde ku kabenje

Ali Mivule

July 19th, 2017

No comments

Bya Magembe ssabbiiti Abavubuuka babiri  ababadde bava okubba embuzi nya (4) mu disitulikiti ye Kyegegwa bakigudeko motooka ya buyonjo mwebabadde batambulira namba UAH-598N bwebalemeredde neyefula emirundi egiwerako  ku kyalo Butooke kuluguudo oluva eKyegegwa okuda eMubende okukakana nga bamenyesemenyese amagulu n’okufuna ebisago ebyamanyi. Omuddumizi wa poliisi […]

ssemaka asse abaanabe naye neyetta

Ali Mivule

July 19th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo  Bukutu mu gombolola ye Bulopa  ssemaka ow’emyaka 52 bw’awadde abaanabe 2 obutwa n’abatta oluvanyuma naye neyetuga. Ssemaka ono ategerekeseeko lya  Mukwajanga kitegerekese nti asoose kutematema baana bano bwebagonze n’abawa obutwa ne bafa. Abaana aboogerwako kuliko ow’emyaka 8 […]

Abe Kalungu balonze ba ssentebe b’ebyalo

Ali Mivule

July 19th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad Ab’obuyinza mu gombolola ye Kabira mu disitulikiti ye Kyotera tebalinze bya gavumenti kutegeka kulonda kwa byalo nebagenda mu maaso n’enteekateeka ezaabwe okulonda abakulembeze baabwe. Okusinziira ku ssentebe w’egombolola ye Kibanda  Richard Kalanzi,olukiiko lwakulembera lwasazeewo okutegeka okulonda ba ssentebe b’ebyalo n’iobukiiko obwekiseera kubanga […]