Amawulire

Ababadde Batigomya Abavubi Babakutte

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2017

No comments

KALANGALA Bya Gertrude Mutyaba Poliisi e Kalangala eriko abasajja bana begombyemu obwala ababadde bayimbya abavubi ku myalo endubaale nga babanyagako ebyabwe okuli amaato, engine, obutimba n’ebirala. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu masekati ga Uganda Lameck Kigozi, agamba nti abakwate babadde bakozesa emmundu gyebatanazuula nga […]

Eyali Akulira UBC Asindikiddwa e Luzira

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2017

No comments

KAMPALA Bya Ruth Anderah Eyali akulira omukutu gwa gavumenti ogwa mawulire ogwa Uganda Broadcasting Co-operation Paul Kihika avunaniddwa kooti ewuliriza abalyake nabakenuzi era nasindikibwa ku alimanda e Luzira bweyganye emisango gyokubulankanya ensimbi za gavumenti ekyaletawo okufirizibwa. Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Mugisha lutegezezza nti wakati […]

Abaana Be’ssomero Batomeddwa Ekimotoka

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2017

No comments

MUKONO Bya Ivan Ssenabulya Abaana be ssomero lya Nursery e Seeta babbiri bebafiridde mu kabenje, ekimotoka ki lukululana kwekiwabye nekiyingirira akasomero akali ku kkubo. Omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Ssebambuliidde ategezezza nti ki lukululana kibadde kiyimiridde ku kubo, kyoka omugoba wakyo teyakitaddemu Handa Buleeki, nga […]

Aba Taxi abadda mu Buvanjuba bwe gwanga Bediimye

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2017

No comments

Bya Ndaye Moses Abasabaze abadda mu Bugwanjuba bwe gwanga basobeddwa, wali mu paaka enkadde, oluvanyuma lwabagoba ba taxi okwediima nebawumuza emmotoka zaabwe. Bano bawakanya ekyobukulembeze mmotoka zaabwe yonna gyeziyita okubasoloozanga omusolo ogwemitwalo 8 buli mwezi. Bano bajibwako omusolo abobuyinza e Mukono, e Jinja, Iganga nawalala […]

Wiiki Yo’kuyonsa Etandise Olwaleero

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa ne Samule Ssebuliba Ba nakazadde abayonsa basabiddwa okwewala ebiberalikriza, banywe nyo amazzi basobole okubeera namabeere agamala. Obubaka buno buzze, nga Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza wiiki ennmaba eyokuyonsa etandise olwaleero enakomekerezebwa nga 8 omwezi guno. Omusawo Catherine Nanozi, omukugu mu […]

Bebasenda ku Railway Bawawabidde KCCA

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2017

No comments

MBUYA-KAMPALA Bya Juliet Kigongo Abatuuze be Mbuya abali mu 800 batutte ekitongole kya Kampala Capital City Authority mu mbuga zamateeka olwokubasenda, okuva webaali batudde ku ttaka lyekitongole kye ntambula ye ggaali yomukka ekya Uganda Railways Corporation Rift Valley kyebagamba nti kyakoebwa mu bukyamu. Abatuuze bano […]

Kahonda Bamuyimbudde

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2017

No comments

LUWEERO Bya Ruth Anderah Omulamuzi wa kooti ento mu district ye Luweero Charles Sserubuga akirizza omubaka we Ruhinda okweyimirirwa, oluvanyuma lwokumala emyezi 2 mu kkomera. Doziyo Kahonda okuteebwa amaze kuwaayo akakalu ka kooti ka mitwalo 50 ezitali za buliwo, songa 3 abamweyimiridde basabiddwa obukadde 5 […]

Omusawo We’kinnansi owa 50 Asobezza kuwe 15

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2017

No comments

LUGAZI Bya Ivan Ssenabulya Police ye Lugazi mu district ye Buikwe etegeezeza nga bwekutte  musajja mukulu owemyaka 50   ngno musawo wakinnansi lwakusobya ku kawala akemyaka 15  ate nakattikka nolubuto. Omukwate nga mutuuze ku kyalo Musibo ,  kigambibwa nti yakakana ku kawala kano akaali kasoma mu […]

Ssentebbe we Kyalo Bamusizza Mayinja

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2017

No comments

MUBENDE Bya Alex Tumuhimbise Poliisi ye Kakumiro  etandise okuyigga abantu abatanategerekeka abakakanye ku sentebe w’ekyalo Kadiki nebamukuba amayinja okukakana ng’afudde. Omugenzi  ategerekese nga Kamuseni Katule , ng’abatemu bamulumbye mu baala nebamukuba amayinja okutuusa lw’afudde Ababadewo bagamba nti abatemu bano basoose kusinziira wala nebatanula okukanyuga amayinja ku […]

Munna UPC Edward Rurangaranga Afudde

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2017

No comments

Kikasiddwa nga munna UPC eyaliko ssentebe w’ekibiina kino mu gwanga lyonna Meja Edward Rurangaranga  afudde ku myaka egy’obukulu 85. Musajja mukulu ono afiiride mu maka ge agasangibwa mu district ye Shema. Okusinziira ku mukyala we Winifred Rurangaranga, muzeeyi abadde ne’birwadde ebiwera okuli  pressure ne sukaali, nga mu kiro […]