Amawulire

Aba Bakutongoza Kawefube labula-“KOJIKWATAKO”

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2017

No comments

KAMPALA

Bya Rita Kemigisa

Abekibiina kya Democratic Party nabo balangiridde nti bakutongoza kawefube mungeri yokulabula, gwebatuumye Kogitwatako ku Lwokuna lwa wiiki eno nga bawakanya ebiwulirwa okutigatiga ssemateeka we gwanga akawayiro ake 102(b) okujjawo ekkomo ku myaka gyokulembeze we gwanga.

Mu lukungaana lwabanamawulire olutudde ku kitebbekyekibiina mu Kampala, akolanga ssabwandiisi wa DP Gerald Siranda agambye ti kino kigendereddwamu okubeera obumu ne banna-Uganda okulwanirira enfuga eyamateeka.

Siranda ategezezza nti mu kawefube ono, bakukozesa ekitabo eri buli munna-Uganda okuwandikamu ebimukwatako okuli amannya ge, gyabeera ne namba ya ndaga muntu ye.

Agambye nti bagenda kusokera mu district ye Mityana ku Lwokuna oluvanyuma bagende Mukono beyongereyo obunyisa engiri eno newalala.