Amawulire

Aba Boda Boda 2010 Banonyerezebweko

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti esabiddwa okukola okunonyereza okwa namaddala ku biyitingana nti abekibiina kya Boda Boda 2010 tebatyobodde ddembe lya banaabwe basula ntebe omuli nebikolwa ebyokutulugunya.

Omulanga guno, gukubiddwa abalwanirizi be ddembe lyobuntu aba Foundation for Human rights Initiative.

Bino webijidde nga omubaka we Bunya East, Waira Kyewalabye Majegere yemuugunyizza ku nsonga yeemu nabaako byayanjulira palamenti ku mbeera egenda mu maaso.

Omubaka Magyegere yategezezza nti aba Boda Boda 2010, bakira banaabwe okubatulugunya nokubakolako ebyambyone ebibawebuula naddala abo bebatakiriziganya nabo mu mulimu guno.

Kati ssenkulu wekibiina kya Foundation for Human rights Initiative, Dr Livingstone Ssewanyana ategezezza nti okunoyererza kwekwetagisa okuzuula ekituufu.

Wabula mu kwanukula minister omubeezi owensonga zomunda mu gwanga Obiga Mario Kania yabiwakanyizza nategeez nti, kale embeera bwenaaba bwetyo agenda kwebuuza ku poliisi.