Amawulire

Eya’bbye Enkoko Asimattuse Okutibwa

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

NANSANA

Bya Shamim Nateebwa

Omuvubuka  aludde nga’noonyezebwa poliisi ku musango gw’okubba obukadde 25 bamukwatidde Nansana mu bubbi bwenkoko.

Ronald Katurebe owemyaka 21 owe Nansana nga’kola gwa kutunda bikajjo e Mulago akwatiddwa poliisi y’e Nansana oluvannyuma lw’okumenya ekiyumba kya George Mayanja omutuuze w’e Nansana West zooni II mu disitulikiti y’e Wakiso n’abbamu enkoko ezisoba mu 20.

Mayanja nnannyini nkoko ategeezezza nti ababbi bazze nebamenya ekiyumba ky’enkoko ne bazibba kyokka nga talina gwakwata okutuusa Katonda bwamuwadde Katurebe ono mu ttano.

Katurebewabula apooca na biwundu mu ddwaliro e Mulago, oluvanyuma lwokutasibwa ku babadde abamukubye.

Kati akirizza okubba era n’asaba ekisonyiwo, wabulanga agguddwako omusango gwobubbi guli ku fayiro SD: 24/08/07/2017 ku poliisi y’e Nansana.