Amawulire

Omusawo We’kinnansi Yasobezza kuwe’myaka 3

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Police e Bugiri egalidde omusawo wekinnansi lwakusobya ku kaana akemyaka 3. Omukwate mutuuze we Kasongoire mu ggombolola ye Nankoma yasangiddwa lubona nga yekakatise ku kawaala kano, mu ssabo lye wabula nadduka. Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi ategezezza ono oluvanyuma […]

Olutalo mu Kuziika Omugenzi Ssebaana Kizito

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses Wabaddewo vvaawo mpitewo mu kuziika eyali ssenkaggale wekibiina kya Democratic Party, omugenzi John Ssebaana Kizito mu Luwero. Okulwanagana kubadde wakati wabavubuka bekibiina kyabamusaayi mutto aba Uganda Young Democrats nabawagizi ba Lord mayor wa Kampala Erias Lukwago. Olutalo lubaluseewo, Erias Lukwago nomubaka omulonde […]

Owo’mwaka Ogumu Afiridde mu Muliro

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Magembe Ssabiiti Poliisi e Mubende eliko omukazi gwekute lwakulagajalira mwana we namusibira mu nyumba nalekamu akataala ka munaku tadooba nagenda ewamuliranwa okunyumya ekivirideko omuliro okukwata enyumba omwana ono nafiramu. Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Lwabusaana mu gombolola ye Kiganda e Mubende mu kiro  ekikesezza […]

Abaali Bagenda Okuziika Omukulembeze we gwanga Bayimbuddwa

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Police mu district ye Mbarara emaze neyimbula abavubuka 3 abakwatibwa nga bagezaako okwekalakaasa nekifananyi kyomulambo gwomukulembeze we gwanga, nga bawakanya ekyokujjawo ekkomo ku myaka gyomukulmbeze we gwanga. Bano ekitongole kya gavumenti ekiwaabi kyawabudde baggulweko omusango gwokujemera gavumenti. Muhumuza Max owemyaka 47, Rogers […]

Omubaka Hailat Kaudha Bamuziika nkya

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune Abadde omubaka omukyala owa district ye Iganga Grace Hailat Kaudha kikakasiddwa agenda kuzikibwa olunnaku olwe nkya ku kyalo Magogo mu district ye Iganga. Omugenzi abadde musiraamu, ngaweza emyaka 29. Yafiridde mu ddwaliro oluvayuma lwokufuna obuzibu, ngabadde lubuto lwa myezi 5. Amawulire agasoose […]

Abe Kyaggwe Betala-Kabaka Asubirwa

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abantu ba ssabasajja mu ssaza lye erye Kyaggwe betala okukira abanabaaga, nga batekatekera Omutanda ageneda okulabikako eri Obuganda mu ssazal ino olunnaku olwe nkya okugulawo emipiira gye’biika bya Buganda. Banna-Kyaggwe bazimbye ebyitirirwa okuva ku nsalo ya Kyaggwe ne Kyadondo e Namanve okulaba […]

Kabaka Okuggulawo Empaka Ze’bika

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Ssabasajja asiimye okuggulawo empaka  z’ebika bya Baganda ez’omulundi guno e zigenda okuggulwawo ku Ssande nga 9/July /2017 nga Embogo ekyaza Engeye ku kisaawe ky’e Nakisunga – Mukono mu ssaza ly’e Kyaggwe. Minista webyemizanyo nokwewumuzamu mu gavumenti ya Ssabasajja Owekitibwa Henry Ssekabembe  ategezezza […]

Omubaka wa Palamenti Afudde Ng’azaala

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa Omubaka omukyala owa district ye Iganga mu palamenti, munna NRM Grace Kaudha Hailat, afudde ngazaala. Kaudha abadde aweza emyaka 29 kigambibwa yaddusiddwa okuva mu ddwaliro lya Case Clinic mu Kampala okumutwala mu ddwaliro e Kawempe ettabi erya Mulago, ngafunye obuzubi mu kusindika […]

Obubaka bwa Ssabasajja eri Obuganda olwokufa kwa Ssebaana

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebbe 11, ayogedde ku musajjawe we, Owekitiibwa John Ssebaana Kizito. Mu bubaka Omutanda bwawerezza eri abenju yomugenzi nobuganda awamu, obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusabira omyoyo gwomugenzi ku lutikko e Namirembe, beene asiimye emirimu gya Ssebaana omuli […]

Ssebaana bamusabidde

Ali Mivule

July 6th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Omubiri gw’omugenzi John Ssebaana Kizito gutuusiddwa wali ku City hall. Omulambo gwaniriziddwa loodi meeya Erias Lukwago wamu nebakansala abenjawulo nga era essaawa yonna wakubeerawo olutuula lwa kanso olwenjawulo okujjukira ebirungi ebikoleddwa omugenzi John Ssebaana Kizito eyaliko meeya wa Kampala. Ssebaana y’afa nga […]