Amawulire

Omubaka wa Palamenti Afudde Ng’azaala

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omubaka omukyala owa district ye Iganga mu palamenti, munna NRM Grace Kaudha Hailat, afudde ngazaala.

Kaudha abadde aweza emyaka 29 kigambibwa yaddusiddwa okuva mu ddwaliro lya Case Clinic mu Kampala okumutwala mu ddwaliro e Kawempe ettabi erya Mulago, ngafunye obuzubi mu kusindika omwana, gyatasimattusse.

Kigambibwa ono olwatusese mu ddwaliro teyasanzeeyo musawo okumukolako.

Ono abadde akiiko mu palamentu nga yeyadda mu bigere byomubaka Olivia Kabaale Kwagala.

Okusinziira ku akulira ebyamawulire mu palamenti,  Chirs Obole, ono yandiba ngagenda kuzikibwa olwaleero.

Obore ategezezza nti abegenda kino bagamba kyebasazeewo.

Ono ye mubaka owokusattu okufa mu palalemti eye 10th Parliament, abalala kuliko omubaka omukyala owe Moroto, Anne Logiel nowe Toroma, Cyrus Amodoi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *