Amawulire

Kabaka Okuggulawo Empaka Ze’bika

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja asiimye okuggulawo empaka  z’ebika bya Baganda ez’omulundi guno e zigenda okuggulwawo ku Ssande nga 9/July /2017 nga Embogo ekyaza Engeye ku kisaawe ky’e Nakisunga – Mukono mu ssaza ly’e Kyaggwe.

Minista webyemizanyo nokwewumuzamu mu gavumenti ya Ssabasajja Owekitibwa Henry Ssekabembe  ategezezza nti  obutafaananako na bulijjo ebika 43 byokka bye byewandiisizza kw’ebyo 50 nga kino kivudde ku nsimbi, ebisaawe, obukulembeze saako n’abazannyi okwebulankanya kyokka n’ebika ebizeetabyemu tebinnaba kulaga bulungi bwagazi.

Empaka z’omwaka oguwedde zaawangulwa ekika ky’Ente oluvannyuma lw’okukuba Abalangira mu kusimulagana peneti bwe kityo ne kiweza ebikopo bibiri mu mpaka zino wabula ku mulundi guno ebika ebyenjawulo biwera okulemesa Ente okukizzaayo nga Embogo yo yaakakiwangula emirindi 2 ate Engeye 4.