Amawulire

Obubaka bwa Ssabasajja eri Obuganda olwokufa kwa Ssebaana

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebbe 11, ayogedde ku musajjawe we, Owekitiibwa John Ssebaana Kizito.

Mu bubaka Omutanda bwawerezza eri abenju yomugenzi nobuganda awamu, obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusabira omyoyo gwomugenzi ku lutikko e Namirembe, beene asiimye emirimu gya Ssebaana omuli okuzzaawo n’okutumbula emipiira gy’ebika bya Buganda nokukolera Obwakabakabwe obuteebalira.

Ye Katikkiro mu bigambi bye, agambye nti owek Ssebaana Kizito obulamu bwe abutambulizza ku nsonga ssemasonga ettaano era nasubiza nti anajjukirwa nnyo mu nkulaakulana ya Buganda.

Okusaba kwetabaiddwamu abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okubadde, Omulangira Kassim Nakibinge, Katikkiro eyawummula Dan Muliika, ba Minisita ba Kabaka nebannabyabufuzi njolo.