Amawulire

Omubaka Hailat Kaudha Bamuziika nkya

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune

Abadde omubaka omukyala owa district ye Iganga Grace Hailat Kaudha kikakasiddwa agenda kuzikibwa olunnaku olwe nkya ku kyalo Magogo mu district ye Iganga.

Omugenzi abadde musiraamu, ngaweza emyaka 29.

Yafiridde mu ddwaliro oluvayuma lwokufuna obuzibu, ngabadde lubuto lwa myezi 5.

Amawulire agasoose okufuluma aba family babadde basazeewo azikibwe olwaleero olwengeri nti abadde musiraamu, wabula amasu getufunye okuva ku mubaka wa munisipaali eye, Iganga Peter Mugema tekigenda kusoboka okuziika olwaleero.

Omugezni Kaudha yajiddwa mu ddwaliro lya Case Clinic mu Kampala naddusibwa e Kawempe gyasirizza ogwe nkomerero.

Kigambibwa omugezni yafudde oluvanyuma lwobutafuna musawo yenna amukolako ku Case Clinic.