Amawulire

Besigye Ayozayoza Bobie Wine

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Munna FDC, Dr.Kiiza Besigye ayogedde ku kulemererewa kwekibiina mu kalulu kenvunula bibya akakomekerezeddwa okujjuza ekiffo kyomubaka wa Kyadondo East mu palamenti. Eyesimbawo kubwa namunigina Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobie Wine yalangiriddwa ku buwanguzi ku bululu emitwalo 2,5000 owa  NRM William Sitenda […]

Baryamureeba Tanakiriza

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye Eyaliko omumyuka wa ssenukulu we ttendekero lye Makerere Prof Venansius Baryamureeba awakanyizza okulondebwa kwa Prof Barnabas Nawangwe ngomumyuka wa ssenukulu we Makerere omugya. Professor Baryamureeba, nga yoomu ku banatu 4 ababadde bavuganya, ategezezza nti alina obujulizi obumala ntio obukiiko obwabadde bulonda bwakoze […]

Abaana Abatasoma Bakwatiddwa

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Bya Magembe Sabiiti Abatwala ebyenjigiriza mu South –Division mu munispaali eye Mubendenga bali wamu nabakulembeze abalala bakoze ekikwekweeto nebafuuza abaana abatasoma mwebakwatidde abaana abasoba mu 30. Mayor wa Division eno Beatress Kasigazi ategezeezza nga bwebakizuula nti abaana bangi tebasoma eky’ongedde ku bumenyi bwa mateeka mu […]

Museveni Annenyezza Ekitongole Kyabamusiga Nsimbi Olwa ssukaali Okubaluuka

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni annenyezza okupaluuka kwemiwendo gya ssukaali mu gwanga ku kitongole kya Uganda Investment Authority, bagamba nti tebakoze mirimu gyabwe bulungi. Museveni agamba ekitongole kino ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi, abakitwala batekeddwa okutuula wansi na bonna abakwatibwako okumalawo embeera […]

Besigye Alayidde nti Olwaleero lwerusembye okweyanjula mu kooti

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Munna FDC, eyawanika bendera yekibiina mu kulonda kwa bonna okwaggwa, Dr. Kiiza Besigye nate azeemu okulayira nga bwatagenda kudda mu kooti ye Nakawa gyeyewuubye olwemisango gyokulwa mu nsi ye olukwe egyamuggulwako. Nolunnaku olwaleero omuwaabi wa gavumenti, Caroline Opia ategezezza nti poliisi ekyanonyerereza […]

Bobie Wine agamba tagenda kwa’bulira Kuyimba olwebyo’bufuzi

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Oluvanyuma lw’omuyimbi Bobi Wine amanya amatuufu, Robert Kyagulanyi okuwuuta akalulu ku ekifo ky’omubaka wa Kyaddondo East mu palamenti, abayimbi bagamba nti kino kigenda kubongera amaanyi. Akulira ekibiina ekigatta abayimbi nebannakatemba mu gwanga, Andrew Benon Kibuuka agamba kano kabonero akalaga nti abayimbi nabo basobola okuwa abantu […]

Abadde atunda ensenene bamusibye

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Omusajja  agambibwa  okusangibwa ng’atunda  ensenene  mu  kibuga gamumyuuse ng’atwalibwa mu komera e Luzira. Gumisiriza Ambrose asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende namuvunanwa omusango gw’okutunda ensenene nga tafunye lukusa kuva mu Kitongole kya KCCA n’agukkiriza. […]

Ensenene kati zakugatibwanga mu birungo by’enkoko

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’omutindo kitongozza akabonero akapya akagenda okukozesebwa ku kirungo  ekipya ekikozesebwa mu kutabula emmere y’enkoko  wamu n’eyebyenyanja. Ekirungo kino ekimanyiddwa nga INSFEED  kikolebwa okuva mu biwuka nga ensenene n’ebirala . Amyuka akulira ekitongole kino  Patricia Ejalu agamba  oluvanyuma lwokakasibwa, kati […]

Minisita Mutagamba aziikibwa leero

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa Eyabadde minisita w’ebyobulambuzi omugenzi Maria Mutagamba  olwalerro lwaziikibwa ku kyalo  Gamba mu disitulikiti ye Rakai. Olunaku lw’eggulo omubiri gw’omugenzi gwatwaliddwa mu palamenti okugukubako eriisa evvanyuma. Wano sipiika wa palamenti weyasabidde gavumenti okukola ku yinsuwa z’okujanjaba bannayuganda basobole okufuna obujanjabi obusaanidde. Omugenzi  Mutagamba […]

Abesimbyewo e Kyadondo balabuddwa

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ben Jumbe Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde bonna abesimbyewo ku kifo ky’omubaka we Kyadondo okwewala okukuba kampeyini endala oluvanyuma lwa kampeyini okukomekerezebwa olunaku lw’eggulo mu butongole. Olwokaano luno lulimu abantu 5 nga abamu baakubye nkungaana gagadde sso nga abalala baavudde nju ku nju. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  […]