Amawulire

Museveni Annenyezza Ekitongole Kyabamusiga Nsimbi Olwa ssukaali Okubaluuka

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni annenyezza okupaluuka kwemiwendo gya ssukaali mu gwanga ku kitongole kya Uganda Investment Authority, bagamba nti tebakoze mirimu gyabwe bulungi.

Museveni agamba ekitongole kino ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi, abakitwala batekeddwa okutuula wansi na bonna abakwatibwako okumalawo embeera egenda mu maaso mu gwanga.

Agambye nti ebbeyi ya ssukaali mu gwanga tetekeddwa kupaluuka kssukka ku bbeyi ya ssukaali ku katale kensi yonna, wabulanga alaze okutya nti mpaawo kikoleddwa abavunanyizbwa.

Bino byonna omukulembeze we gwanga abyogeredde mu Busoga amakolero ga ssukaali agasinga mu gwanga gyegali, mu lukiiko olwatudde nga lwetabiddwamu ba musiga nsimbi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *