Amawulire

omuliro gusanyizzawo sitoowa z’obuwunga

Ali Mivule

June 23rd, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Abasuubuzi bomu kisenyi bali mu miranga oluvanyuma lw’omuliro okusanyaawo emmaali yaabwe. Abasinga bagenze okukeera ku makya nga omuliro gukyayaka nga era era ebyuma byabwe eby’obuwunga bisanyewo wamu n’ekizimbe kya Salabed ekitereka emigugu egyenjawulo.   Okusinziira ku basuubuzi omuliro guno gwatandise ku saawa […]

Bannamateeka ba gavumenti becanze

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

Bbo bannamateeka ba gavumenti bali  mu nteekateeka zakuteeka wansi bikola lwamusaala mutono gwebafuna. Ssentebe w’ekibiina ekigatta bano  Baxter Bakibinga agamba olwaleero bannamateeka bokka abakolera mu byalo bebatagenda kukola kubanga balina okujja mu lukungaana lwabwe olwenkya okusalawo ku kediimo kaabwe. Wabula bbonna abali mu kampala balina […]

Alipoota y’abaalya ez’amafuta efuluma leero

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune Akakiiko ka palamenti akaatekebwawo okunonyereza ku baagabana obuwumbi oluvanyuma lwa Uganda okuwangula omusango gw’amafuta mu Bungereza olowaleero lwekanja alipoota. Alipoota eno y’abadde yakusomebwa olunaku lw’eggUlo wabula obudde tebwamaze. Mu alipoota eno, akakiiko kaasazeewo abakungu ba gavumenti bonna abaalyako yadde ekikumi bazizze mangu […]

Olukungaana lw’ababundabunda lwaleero

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

  Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Antonio Guterres olwaleero asuubirwa okutuukako mu nkambi y’ababundabunda eya Imvepi mu disitulikiti ya Arua. Ssabawandiisi ali kuno okukubiriza olusirika lw’ababundabunda olumanyiddwa nga Uganda Solidarity Summit on refugees nga era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni naye wakubeerawo nga lugulwawo. Guterres wakuwerekebwako […]

Abadde ava Okulaba TV ewa Mulirwana Bamusse

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa E Ntebe tutegeezeddwa nga entiisa bwebuutikidde abatuuze be Kitubulu  omukazi ow’emyaka bwatiddwa mubukambwe obwekitalo. Omugenzi ategerekese nga Faith Jamirah abadde atunda ebyuma ebikadde by’oyinza okuyita scrap  , wabula nga kigambibwa nti weyafunidde obuzibu yabadde eva wamuliranwa okulaba TV, olwo agasajja agatalina kisa […]

Kabaka Ajjulidde ku Musango gwa Mabiriizi

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Okuwulira omusango Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 mwawakanyiriza ennnamula ya kooti enkulu eyamulagira okulaga ebiwandiiko nebikwata ku ttaka lye eri  Male Mabirizi Kiwanuka kugenda mu maaso mu kooti ejjulirwamu. Omutanda akiriddwa munnamateeka Christopher Bwanika ngono ategezezza omulamuzi ali mu mitambo […]

Omusango gwa VJ Junior Ogwo’buseegu Gwo’ngezedwayo

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Ate mu Malala aga kooti, okuwulira omusango gwobuseegu oguvunanibwa omwogezi wa film Smart Matovu amanyiddwa nga  “VJ Junior” tekugenz mu maaso amakya ga leero. Kino kidiridde oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta abajulizi omusango gutandike okuwulirwa nga bwekibadde kisubirwa. VJ Junior ngennakuz zomwezi 26th […]

Ssale ssale ku Balimira mu Bibira bya Gavumenti

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole kyebibira mu gwanga, ekya National Forestry Authority kiwadde salesale nge nnakuz z’omwezi nga 30 omwezi guno abantu bonna abalimiria mu bibbira bya gavumenti mu district okuli Mukono ne Buikwe okubanga babyamuse. Atwala ebibbira mu district zino, Robeert Mubokhisa ategezezza nti abantu […]

Alippota ku Kasiimo akobuwumbi 6 ya Leero

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune Akakiiko ka palamenti akabdde kanonyereza ku nsimbi obuwumbi 6 ezaweebw abakozi ba gavumenti ngakasiimo, kasubirwa okwanja alipoota yaako olwaleero. Alipoota yakakiiko essubirwamu ebyo abakaka byebazudde ate nokuwabula engeri abakozi ba gavumenti abakoze ebisukulumye  gyebalina okusimibwangamu. Abakungu ba gavumenti abenjawulo basimibwa olwenkola yemirimu […]

Amateeka amakakali ku vanilla gajja

Ali Mivule

June 20th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Nga obubbi bw’ekilime kya Vanilla bweyongera buli lukya, minisitule y’ebyobulimi eyisizza amateeka amakkakali ku by’okukungula n’okutunda ekirime kino. Mu lukiiko lw’abalimi ba Vanilla okuva mu bitundu 30 gyebasinga okumulima, kyasaliddwawo nti abalimi bonna bawandiisibwe nga era teri kuddamu kukungula vanilla muto. Nga […]