Amawulire

Alippota ku Kasiimo akobuwumbi 6 ya Leero

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune

Akakiiko ka palamenti akabdde kanonyereza ku nsimbi obuwumbi 6 ezaweebw abakozi ba gavumenti ngakasiimo, kasubirwa okwanja alipoota yaako olwaleero.

Alipoota yakakiiko essubirwamu ebyo abakaka byebazudde ate nokuwabula engeri abakozi ba gavumenti abakoze ebisukulumye  gyebalina okusimibwangamu.

Abakungu ba gavumenti abenjawulo basimibwa olwenkola yemirimu ennungi egwanga bwelyali luwangula omusango gwamafuta ne kampiuni ya Heritage mu mwaka gwa 2010.

Ssentebbe wakakiiko ka plalamenti kano, omubaka we Bugweri, Abdul Katuntu wamu ne bababka banne okuva ku ntandikwa yomwaka guno wakati mu kunonyererza babadde bafuna ensonga ezenjawulo era ezitakwatagana ku kasiimo kano.

Kinnajjukirwa President Yoweri Museveni, bweyali asisinkanye ababaka abatuula ku kakiiko kano yasubiza nti ensimbi zino zakukomezebwawo.

Kati alipoota yakakiiko ka Katuntu egenda kwanjulwa akawungeezi ka leero.