Amawulire

Omusango gwa VJ Junior Ogwo’buseegu Gwo’ngezedwayo

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Ate mu Malala aga kooti, okuwulira omusango gwobuseegu oguvunanibwa omwogezi wa film Smart Matovu amanyiddwa nga  “VJ Junior” tekugenz mu maaso amakya ga leero.

Kino kidiridde oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta abajulizi omusango gutandike okuwulirwa nga bwekibadde kisubirwa.

VJ Junior ngennakuz zomwezi 26th  May yavunanibwa omusango gwokutunda obutambi obwobuseegu bweyasimbibwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Buganda Road Jamson Kareemani omusango nagyegaana.

Oludda olyuwaabi lugamba nti ngennakuz zomwezi 23rd omwezi oguwedde VJ Junior omuvunanwa, awo ku Zai PLaza neku Majestic plaza mu Kampala yaguza copral Namugala Aisha ne Frank Ntambi obutambi obwobuseegu, ekintu ekitattana obwongo bwabantu.

Omusango kati gwongezeddwayo okutuuka nga 11th  July nga nokweyimirirwa kwe kwongezeddwayo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *