Amawulire

Ssale ssale ku Balimira mu Bibira bya Gavumenti

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekitongole kyebibira mu gwanga, ekya National Forestry
Authority
kiwadde salesale nge nnakuz z’omwezi nga 30 omwezi guno abantu bonna abalimiria mu bibbira bya gavumenti mu district okuli Mukono ne Buikwe okubanga babyamuse.

Atwala ebibbira mu district zino, Robeert Mubokhisa ategezezza nti abantu bangi abesenza mu bibbira bino mungeri emennya
amateeka nga batekeddwa okukyamuka bunabiiro.

Bino abitegezza abatuuze ab’egatiira mu kibiina kya Lumama Agro Forestry Farmers Association mu lukiiko olutudde ku ssomero lya Maziba C/U P/S mu ggombolola ye Ntenjeru mu distinct ye Mukono nga lwetabiddwamu n’omubaka w’ekitundu Johnson Muyanja Ssenyonga.

Wabula bbo abatuuze basabye NFA okubaleka
mu kibiira kubnga webalimira okufuna emmere.