Amawulire

Olukungaana lw’ababundabunda lwaleero

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

 

Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Antonio Guterres olwaleero asuubirwa okutuukako mu nkambi y’ababundabunda eya Imvepi mu disitulikiti ya Arua.

Ssabawandiisi ali kuno okukubiriza olusirika lw’ababundabunda olumanyiddwa nga Uganda Solidarity Summit on refugees nga era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni naye wakubeerawo nga lugulwawo.

Guterres wakuwerekebwako akulira ekitongole ky’ekibiiba ky’amawanga amagatte ekikola ku babundabunda Filippo Grandi, ssabaminisita wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda, Minister w’ebigwa tebiraze Hillary Onek n’abalala abanene.

Ekigendereddwamu mu kino kwekulaga omukulu ono obwetaavu Uganda bwerina mu kubeezawo abanonyi b’obubuddamu naddala aba Sout Sudan abesogga Uganda buli lukya.

Okusinziira ku bibalo Uganda erimu ababundabunda akakadde kamu mwemitwalo assatu nga 2000 bayingira Uganda buli lunaku.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *