Amawulire

Museveni yesozze akalulu ka Kyadondo

Ali Mivule

June 27th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Pulezidenti  Yoweri Kaguta Museveni  olwaleero naye asuubirwa e Kyadondo okukubira munna NRM William Sitenda Ssebalu kampeyini mu kulonda kuno okubindabinda nga ne kampeyini zikomekerezebwa olwaleero.   Munnamawulire wa pulezidenti Don Wanyama atutegezezza nti ssentebe w’ekibiina kino Museveni ayagala kuperereza balonzi balonde munnakibiina […]

Kampeyini ze Kyadondo zikoma leero

Ali Mivule

June 27th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza  nga bweketegekedde obulungi okuddamu okulonda kw’omubaka wa Kyadondo East. Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lwa kkooti ejulirwamu okukkanya  ne kkooti enkulu nebagoba Apollo Kantinti mu palamenti nti yazimuula amateeka g’ebyokulonda. Abesimbyewo 6  kati mwezi mulamba nga banoonya akalulu era […]

Ekisaddaaka bantu kikomyewo

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi erabudde nga ekisaddaaka bantu  bwekisitudde buto mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Kino kiddiridde poliisi okugwa mu mitwe gy’abantu 2 wamu n’ekiwuduwudu mu maka g’omusamize ssetimba Muyanja omutuuze mu gombolola ye  Kamira mu disitulikiti ye Luweero ate nga waliwo n’omulambo omulala ogwasangiddwa mu […]

Dereva eyavuddeko akabenje k’eMasaka bamuwenja

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi mu bitundu bya Katonga ekyali ku muyiggo gwa dereeva eyavuddeko akabenje akafiiriddemu abantu 9 ku luguudo lwe Masaka olunaku lw’eggulo . Aduumira poliisi y’ebidduka mu ggwanga  Dr Steven Kasiima agamba dereeva ono Moses Ssentongo y’avugisizza ekimama nga agezaaako okuyisiza mu kitundu […]

Abaana b’amassomero bakuweebwa amata g’obwerere

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam ssebuliba Minisitule y’ebyobulunzi eri mu nteekateeka z’okugabira abaana b’amassomero amata mu kawefube w’okutumbula eby’obulamu byabwe. Mu Uganda kiteberezebwa okuba nti buli mwaka omuntu liita z’amata 20 sso nga ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kiwabula omuntu anywe liita 600. Minisita omubeezi ow’ebyobulunzi  joy Kabatsi […]

Bannayuganda bangi batulugunyizibwa mu kimugunyu

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okuvumirira okutulugunya  n’okuwagira abatulugunyiziddwa , amaloboozi g’okusomesa abakwasisa amateeka ne bannayuganda bonna ku by’okutulugunya gongedde okuyitamu.   Olunaku luno lukuzibwa buli nga  June 26 each okujjukiza ensi nti okutulugunya kikolwa kya kko.   Akulira […]

Aba Shia Tebakuzizza Eid

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Abayisraamu abekiwayi kyaba-Shia tebakuzizza Eid olwaleero. Bano bagenda kusaala Eid olunaku olwe nkya ku Bbalaza ngennakuz zomwezi 26th. Amawulire agafulumizddwa akulira Ahuru-bite Foundation, Omar Bbongo okuva ku kitebbe Kyaba-Shia mu district ye Mayuge omwezi tegwalabise. Agambye nti bbo Eid bagenda kujikuza olunnaku […]

Omulangira Kassim Nakibinge ku Kye’kubiira mu Nsimbi za’bavubuka

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Jajja wobuyisiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu asabye okubunya entekateeka yensimbi zabavubuka ezokwekulakulanya nokulwanyisa ebbula lyemirimu awatali kyekubiira. Buno bwebubadde obubaka mu kukuza Eid wakati mu bagenyi abebitiibwa bakyazizza wali mu maka ge e Kibuli. Omulangira Kassim Nakibinge ategezezza nti waddenga kirungi, okuba […]

Mufuti Avumiridde Ettemu

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2017

No comments

Bya Sam Sebuliba ne Ndaye Moses Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje asabye abayisiraamu okwewala ebikolwa byonna ebimenya amateeka. Buno bwebubadde obubaka bwa Mufuti, mu kusaala Eid wali ku muzikiti omukulu ku Kasozi Kampala. Sheik Mubajje agambye nti abayisiraamu bangi abakwatiddwa ku byekuusa ku […]

Obubaka bwa Besigye obwa Eid

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2017

No comments

Bya Dmalie Mukhaye Munna FDC Dr. Kizza Besigye asabye abayisraamu okunweyerera ku nsonga zaabwe ezimanyiddwa obvulungi, nomulanga okukimanya nti Uganda gwanga erykutte awamu. Bino bibadde mu bubaka bwe obwa Edi ngayogedde ku mwezi omutukuvu ngogwoleka ebyo abayisiraamu byebakirizaamu nengeri gyebalina okuvvunukamu ekibi. Kati Eid wetukidde, Besigye […]