Amawulire

Mufuti Avumiridde Ettemu

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2017

No comments

Bya Sam Sebuliba ne Ndaye Moses

Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje asabye abayisiraamu okwewala ebikolwa byonna ebimenya amateeka.

Buno bwebubadde obubaka bwa Mufuti, mu kusaala Eid wali ku muzikiti omukulu ku Kasozi Kampala.

Sheik Mubajje agambye nti abayisiraamu bangi abakwatiddwa ku byekuusa ku ttemu nebiralala kalenga kizibu gyebali ngabakulembeze baabwe okubaterayo akabega.

Ategezezza nti omwezi omutukuvu gusanye okubakyusa, okuviira ddala mu bikolwa ebikyamu okutandika okweyisa obulungi.

 

Ate Supreme mufti wa Uganda, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa mu bubaka bwe asabye abayisraamu okusomesa abaana baabwe, Obuyisiraamu bwebunaaba bwakusimba emirandira mu gwanga.

Ono abadde mu kusaala Eid wano ku Kasozi e Kibuli nalaga okutya nti abayisraamu bangi abesambye ebyokusomesa abaaba baabwe.

Oluvudde kwebyo navumirira ebikola ebyobuli bwenguzi ebyafuuka baana baliwo mu gwanga.

 

22

Bbo abakulembeze baba-Tablique mu gwanga basabye omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni okutabaganya abayisiraamu.

Ssabawandiis wekitebbe Kyaba-Tabliq mu Uganda, Sheikh Ayyub Nyende akubidde gavumenti omulanga nti etekeddwa okuvaayo okugonjoola enkyana zabasiraamu ezitakya.

Ono ayogedde ku alipoota ya Kabwegyere ku nsonga zebintu byobusiraamu nti yasonga neku ddagala okumalwo endoliito.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *