Amawulire
Dereva eyavuddeko akabenje k’eMasaka bamuwenja
Bya Sam Ssebuliba
Poliisi mu bitundu bya Katonga ekyali ku muyiggo gwa dereeva eyavuddeko akabenje akafiiriddemu abantu 9 ku luguudo lwe Masaka olunaku lw’eggulo .
Aduumira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr Steven Kasiima agamba dereeva ono Moses Ssentongo y’avugisizza ekimama nga agezaaako okuyisiza mu kitundu ekikyamu.
Kasiima agamba okunonyereza kwebakoze kulagira ddala nti omugoba w’ekidduka ono yeyavuddeko akabenje wali e kalandazi kumpi ne tawuni ye Buwama omwafiiridde abaabadde mu mmotoka ekika kya Prmio bonna n’abalala 3 abaabadde mu taxi.