Amawulire

Abesimbyewo e Kyadondo balabuddwa

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ben Jumbe

Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde bonna abesimbyewo ku kifo ky’omubaka we Kyadondo okwewala okukuba kampeyini endala oluvanyuma lwa kampeyini okukomekerezebwa olunaku lw’eggulo mu butongole.

Olwokaano luno lulimu abantu 5 nga abamu baakubye nkungaana gagadde sso nga abalala baavudde nju ku nju.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  omulamuzi  Simon Byabakama alabudde nti omuntu yenna anaasangibwa nga akuba kampeyini wakukolebwako nga amateeka bwegalagira.

Mungeri yeemu Byabakama akkatirizza nga bwebetegese obulungi nga era ebikozesebwa mu kulonda essaawa wezinawerera 11 ezokumakya bijja kuba bituuse webalondera.

Kyadondo East erimu ebifo webalondera 93 n’abalonzi 72,818