Amawulire

Besigye Alayidde nti Olwaleero lwerusembye okweyanjula mu kooti

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Munna FDC, eyawanika bendera yekibiina mu kulonda kwa bonna okwaggwa, Dr. Kiiza Besigye nate azeemu okulayira nga bwatagenda kudda mu kooti ye Nakawa gyeyewuubye olwemisango gyokulwa mu nsi ye olukwe egyamuggulwako.

Nolunnaku olwaleero omuwaabi wa gavumenti, Caroline Opia ategezezza nti poliisi ekyanonyerereza police ku misango gye.

Besigye oluwulidde bino nalangirira nti olwaleero lweriunnaku lwe olusembyeyo okweyanjula mu kooti eno, ento kale bwebanaaba bamwetaaze nga bamaze okunonyererza banamukwata.

Besigye yakwatibwa mu mwezi gwokutaano omwaka oguwedde, naggulwako omusango gwokulya mu nsi ye olukwe era natwalibwa ku alimanda e Luzira gyeyamala emyezi 2 olvanyuma naweebwa okweyimirirwa kwa bukadde 100 awoze ngava bweru wa komero okwali nobukwakulizo obulala.

Ono bamulanga kwerayiza ku bukulembeze bwe gwanga, oluvanyuma lwakululu ka bonna akaliwo omwaka oguwedde.

Kati omulamuzi we ddaala erisooka, mu kooti ye Nakawa nga yali mu mitambo gyomusango guno, Noah Sajjabi omusango agwongezaayo okutuuka ngennaku zomwezi 1st mugwomuwenda.