Amawulire

Minisita Mutagamba aziikibwa leero

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Eyabadde minisita w’ebyobulambuzi omugenzi Maria Mutagamba  olwalerro lwaziikibwa ku kyalo  Gamba mu disitulikiti ye Rakai.

Olunaku lw’eggulo omubiri gw’omugenzi gwatwaliddwa mu palamenti okugukubako eriisa evvanyuma.

Wano sipiika wa palamenti weyasabidde gavumenti okukola ku yinsuwa z’okujanjaba bannayuganda basobole okufuna obujanjabi obusaanidde.

Omugenzi  Mutagamba y’afa ekirwadde kya kookolo w’ekibumba ku myaka 65 era y’alese abaana 15 n’abazzukulu 26.

Mutagamba era y’ali omubaka omukyala owa disitulikiti ye Rakai okumala emyaka 15.