Amawulire

Abadde atunda ensenene bamusibye

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Omusajja  agambibwa  okusangibwa ng’atunda  ensenene  mu  kibuga gamumyuuse ng’atwalibwa mu komera e Luzira.

Gumisiriza Ambrose asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende namuvunanwa omusango gw’okutunda ensenene nga tafunye lukusa kuva mu Kitongole kya KCCA n’agukkiriza.

Wano omulamuzi Nabende w’amuweredde ekibonerezo kya kusibwa ennaku makumi 50 mu kkomera e Luzira.

Gumisiriza myaka 43 nga mutuuze we Nsambya Kevina  Omusango yaguzza nga June 26th 2017 ku Kisekka Market wano mu Kampala.

Kkooti  yemu ewadde omusajja asngiddwa ng’atembeeya jambula mu Kampala naye ekibonerezo kyakusibwa ennaku makumi 50.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *