Amawulire

Ensenene kati zakugatibwanga mu birungo by’enkoko

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’omutindo kitongozza akabonero akapya akagenda okukozesebwa ku kirungo  ekipya ekikozesebwa mu kutabula emmere y’enkoko  wamu n’eyebyenyanja.

Ekirungo kino ekimanyiddwa nga INSFEED  kikolebwa okuva mu biwuka nga ensenene n’ebirala .

Amyuka akulira ekitongole kino  Patricia Ejalu agamba  oluvanyuma lwokakasibwa, kati ekirungo kino kyakutandika okukozesebwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Eyakulembeddemu okunonyereza kuno okuva ku yunivasite ye Makerere  Professor, Dorothy Nakimbugwe  agamba ebiwuka bivaamu emmere y’enkoko ey’ebbeeyi entono  bw’ogerageranya n’ebirungo ebikozesebwa ensangi zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *