Amawulire

Kooti Zitandise Oluwummula

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2017

No comments

KAMPALA

Bya Ruth Anderah

Okuwumiriza emisango kuyimiriziddwamu, okutandika no’lunnaku olwaleero nga’bakozi ba kooti batandise oluwummula lwabwe.

Okusinziira ku mwogezi we ssiga eddamuzi, Solomon Muyita abagenda okuwmmula kuliko abazzi kooti ento oba Magistrates ne kooti enkulu.

Bano bagenda kuwumulamu okumala omwezi mulamba, okuva olwaleero ngennaku zomwezi 15th okutuuka nga 15th omwezi ogujja.

Kitegezeddwa nti mu luwummula luno abalamuzi nabalala bagenda kuba, bakola kumimirimu gyabwe ngabantu, ate nabagala okubaako byebasoma basome.

Kati bbo aba kooti ejjulirwamu ne kooti eya ssemateeka oluwmmula lwabwe lwakutandika nga 1st August okutuuka nga 30th omwezi gwegumu ogwomunaana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *